APONDOOSE! Ashburg agumizza Bobi Wine n’abawagizi ba People Power mu lwatu, yeetondedde Bebe Cool ‘munnange nsonyiwa’
Kyaddaki Ashburg Katto akirizza nti ebintu bikyuka mu bulamu bw’ensi mu ngeri yonna.
Ashburg sabiti ewedde yalangiridde mu butongole nti avudde mu People Power okudda mu NRM n’okuwagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era agamba nti yalabye omusana.
Mu Uganda, Ashburg y’omu ku bannayuganda abaludde nga bavuma abawagizi ba NRM omuli n’omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool.
Wabula agamba nti kati yalokose era yetondedde abantu bonna beyali asobezaako omuli Bebe Cool, Justine Nameere n’abalala mu ggwanga.
Mungeri y’emu agambye nti oluvanyuma lw’okudda mu NRM, tasuubira kuddamu kulumbagana muntu yenna mu bulamu bwe.
Ashburg wadde abadde kafulu mu kuvuma n’okulengezza abantu mu NRM, agumizza omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine nga bw’atagenda kumuvuma wadde okwogera ebikyamu ku kisinde kye ekya People Power.
The post APONDOOSE! Ashburg agumizza Bobi Wine n’abawagizi ba People Power mu lwatu, yeetondedde Bebe Cool ‘munnange nsonyiwa’ appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "APONDOOSE! Ashburg agumizza Bobi Wine n’abawagizi ba People Power mu lwatu, yeetondedde Bebe Cool ‘munnange nsonyiwa’"
Post a Comment