WETONDE! Ebya Full Figure bitabuse, munna People Power amututte mu kkooti lwa kwogera kalebule, Bobi Wine ali mu kamooli
Omuyimbi Jennifer Nakangubi amannyiddwa Full Figure ayolekedde okuvundira mu kkomera singa alemwa okwetonda.
Nga 2, April, 2020, omutegesi w’ebivvulu owa Bajjo Events Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo yawandikidde Full Figure ebbaluwa emulabula nga bw’agenda okumutwala mu kkooti ssinga takomya bikolwa bya kumwogerera amafuukuule mu bantu.
Bajjo ng’ayita mu bannamateeka be, aba Balikuddembe & company, yawandiikidde Full Figure era yagambye nti ng’ennaku z’omwezi April 1,2020, Full-Figure ng’asinziira ku ttivi emu, yamwogerako ebigambo eby’obulimba nti yanzaalamu omwana n’agaana okumulabirira.
Mungeri y’emu Bajjo agamba nti Full Figure yategeeza nti ye y’omu ku bapulomoota abeetaga okuweebwa obuyambi bw’emmere mu kiseera kino ekya Kolona n’okusaba gavumenti emutwale emugezesezeeko eddagala lya Kolona kuba talina makulu mu ggwanga.
Bannamateeka bagamba nti Bajjo ayagala Full Figure amuliyirire obukadde 500 olw’okumwonoonera erinnya kuba ebigambo bye tebyakoma ku kya kutattana n’okunafuya omuntu waabwe wabula n’okutiisa abantu okumuwa bizinensi.
Omusasi waffe bw’abadde awayamu ne Full Figure, agambye nti Bajjo bw’aba ng’asazeewo kugenda mu kkooti, kamulinde mu kkooti kuba alina obujjulizi ku buli nsonga yonna.
Bajjo wadde munna kisinde kya People Power, alaga nti akooye akamanyiro ka Full Figure akakwasa embwa mu mannyo ate mukama we Bobi Wine akulembera ekisinde ki People People ebigenda mu maaso, abirabira mu kamooli.
The post WETONDE! Ebya Full Figure bitabuse, munna People Power amututte mu kkooti lwa kwogera kalebule, Bobi Wine ali mu kamooli appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "WETONDE! Ebya Full Figure bitabuse, munna People Power amututte mu kkooti lwa kwogera kalebule, Bobi Wine ali mu kamooli"
Post a Comment