Minisita Aceng alaze okutya ku bulwadde bwa ‘Corona Virus’, aloopedde Pulezidenti Museveni ku bantu 600 abanoonyezebwa, abalwadde beeyongedde
Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng alaze lwaki buli munnayuganda agwanidde okugondera ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka ka Corona Virus.
Minisita Aceng bw’abadde anyonyola Pulezidenti Museveni ku Corona Virus mu State House, agambye nti ku balwadde 45, 19 babakwatira ku kisaawe Entebe, 23 babadde mu Kalantini, ate 13 baava mu bantu oluvanyuma lw’okudda okuva mu nsi z’ebweru ne bayita ku kisaawe nga tebatwaliddwa mu Kalantini.
Minisita agamba nti okunoonyereza kwabwe kulaga nti abalwadde 13 baasisinkana abantu 606, ekiraga nti abantu abo, kuyinza okubaako abalwadde kyokka mu kiseera kino bali mu bantu, ekintu eky’obulabe eri eggwanga lyonna.
The post Minisita Aceng alaze okutya ku bulwadde bwa ‘Corona Virus’, aloopedde Pulezidenti Museveni ku bantu 600 abanoonyezebwa, abalwadde beeyongedde appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Minisita Aceng alaze okutya ku bulwadde bwa ‘Corona Virus’, aloopedde Pulezidenti Museveni ku bantu 600 abanoonyezebwa, abalwadde beeyongedde"
Post a Comment