Zzina Awards 2020 ziyimiriziddwa lwa ‘Coronavirus’, Dr. Innocent alangiridde ekiddako

Zzina Awards 2020 ziyimiriziddwa lwa ‘Coronavirus’, Dr. Innocent alangiridde ekiddako

Kyaddaki 100.2 Galaxy FM eyimirizza ekivvulu kya Zzina Awards 2020 ez’omulundi ogwomusanvu oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuwera ebivvulu byonna.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe, yagambye nti Gavumenti erina okukola ebintu eby’enjawulo okutangira ssenyiga we China Covid-19 aleetebwa akawuka aka Coronavirus.

Okutangira Covid-19, Museveni yaggadde amasomero, amatendekero aga waggulu, amasinzizo, ebifo ebisanyukirwamu omuli amabaala, okuyimiriza ebivvulu, enkungaana n’ebifo ebirala, okumala ennaku 32.

Ne 100.2 Galaxy FM eyimirizza ekivvulu kya Zzina Awards ekibadde kirina okubaawo ku Lwokutaano nga 27, March, 2020 ku MTN Warehouse mu Kampala.

Zzina Awards zigendereddwamu okusiima bannabitone omuli abayimbi, bannakatemba ne bannabyamizannyo abasukkulumye ku bannaabwe buli mwaka.

Okusinzira ku Ssabazinnyi wa 100.2 Galaxy FM Dr. Innocent Nahabwe, ekivvulu kiyimiriziddwa okuteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni.

Dr.Nahabwe agamba nti wadde ekivvulu kiyimiriziddwa, okulonda kukyagenda mu maaso ku https://www.galaxyfm.co.ug/awards.

Mungeri y’emu agambye nti entekateeka zikyagenda mu maaso okutegeeza eggwanga olunnaku lw’ekivvulu olulala.

Zzina Awards ziwagiddwa aba MTN Uganda ne Movit Uganda.

The post Zzina Awards 2020 ziyimiriziddwa lwa ‘Coronavirus’, Dr. Innocent alangiridde ekiddako appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Zzina Awards 2020 ziyimiriziddwa lwa ‘Coronavirus’, Dr. Innocent alangiridde ekiddako"

Post a Comment