TWESABIRE! Omuwendo gw’abalwadde ba ‘Coronavirus’ mu Uganda gweyongedde, minisitule y’ebyobulamu erangiridde abalala

TWESABIRE! Omuwendo gw’abalwadde ba ‘Coronavirus’ mu Uganda gweyongedde, minisitule y’ebyobulamu erangiridde abalala

Minisitule yebyobulamu erangiridde nti omuwendo gw’abalwadde ba Covid-19 gweyongedde mu ggwanga.
Obulwadde bwa Covid-19 busasaanyizibwa akawuka ka Coronavirus era mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 30.

Minisitule egamba nti olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, abantu 225 bebakebeddwa obulwadde, 7 bazuuliddwa nga balina Covid-19.

Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yagambye nti okutangira obulwadde okusasaana, yasuubiza okulangirira obukwakulizo obupya.
Mu kiseera kino, Museveni yaggalawo ensalo, amassomero, amasinzizo, okuyimiriza entambula y’olukale n’obukwakulizo obulala.

 

The post TWESABIRE! Omuwendo gw’abalwadde ba ‘Coronavirus’ mu Uganda gweyongedde, minisitule y’ebyobulamu erangiridde abalala appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "TWESABIRE! Omuwendo gw’abalwadde ba ‘Coronavirus’ mu Uganda gweyongedde, minisitule y’ebyobulamu erangiridde abalala"

Post a Comment