Poliisi ekutte taata n’omwana ku by’okusaddaaka omusuubuzi, abatuuze balidde obuwuka

Poliisi ekutte taata n’omwana ku by’okusaddaaka omusuubuzi, abatuuze balidde obuwuka

Poliisi y’e Lugazi ekutte abantu basatu (3) ku by’okutta omusuubuzi Eva Kyolaba.

Omulambo gwa Kyolaba gwasangiddwa mu ssamba ly’ebikajjo okumpi ne ssabo ku kyalo Kiremba mu Tawuni Kanso y’e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Kigambibwa, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, Kyolaba ng’abadde mutuuze ku kyalo Luwule mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono, yageenda eri omusawo w’ekinnansi Ismael Ssebuufu ku kyalo Nkokonjeru ku nsonga ez’enjawulo omuli okumukolera ku nsonga y’emirimu gye.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Helen Butoto, bba w’omugenzi Charles Katongole yaddukidde ku Poliisi olwa mukyala we, okubula okuva ku Ssande.

Poliisi yakoze okunoonyereza era kwekuzuula omulambo gwa Kyolaba nga gusuuliddwa mu Ssamba ly’ebikajjo okumpi ne ssabo lya Ssebuufu era abatuuze bekozeemu omulimu essabo ne balimenya.

Butoto agamba nti newankubadde omusawo w’ekinnansi Ssebuufu yasobodde okuduuka, Poliisi ekutte abantu 3 okuli kitaawe James Kalema, muganda we Suleiman Kalema ssaako ne Gerald Ssendagi owa bodaboda eyasobodde okuyamba Ssebuufu okuduuka.

Abatuuze bagamba nti Kyolaba bamusaddaase era basabye Poliisi okukola kyonna ekisoboka omusawo w’ekinnansi Ssebuufu okukwatibwa.

The post Poliisi ekutte taata n’omwana ku by’okusaddaaka omusuubuzi, abatuuze balidde obuwuka appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Poliisi ekutte taata n’omwana ku by’okusaddaaka omusuubuzi, abatuuze balidde obuwuka"

Post a Comment