Omwaka 2020, Cindy yakateeba ggoolo 2, Sheebah 0, alaze lwaki ye ‘The King Herself’
Omwaka 2020, omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy alaze ensi lwaki mu Uganda ye muyimbi asinga abakyala mu talenti y’okuyimba n’emikisa.
Mu 2019, waliwo ebigambo mu Uganda nti Sheebah Kalungi asinga Cindy okuyimba era omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara yali amaliridde okutegeka ekivvulu wakati wa Cindy ne Sheebah, abantu okulondako asinga era kigambibwa kuliko omuyimbi eyatya.
Nga twakayingira omwaka 2020, Cindy yakateeba ggoolo 2 kuba yasobodde okutegeka konsati ‘Boom Party Concert’ eyasombodde abantu okuva mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo era ye muyimbi omukyala eyasoose okutwala konsati ku Cricket Oval e Lugogo nga 7, March, 2020.
Nga wakayita ennaku 10, Cindy alaze eggwanga omusajja omu yekka ali ku mutima gwe Omuzannyi wa Firimu Joel Okuyo Atiku, ekiraga nti 2020 avudde ku muddaala gw’abanoonya.
Mu kiseera kino Sheebah asirikiridde mu kisaawe ky’okuyimba era talinaayo ggoolo yonna kuba 2020, tannaba kuwulikika nnyo wadde yavuddeyo ku Serena okutongoza paadi ez’omulembe okuva mu Kkampuni ye ezaatuumiddwa Holic Pads.
The post Omwaka 2020, Cindy yakateeba ggoolo 2, Sheebah 0, alaze lwaki ye ‘The King Herself’ appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Omwaka 2020, Cindy yakateeba ggoolo 2, Sheebah 0, alaze lwaki ye ‘The King Herself’"
Post a Comment