Mwongezeeyo okulonda kwa 2021, wuuno munnayuganda addukidde mu kkooti enkulu lwa ‘Coronavirus’

Mwongezeeyo okulonda kwa 2021, wuuno munnayuganda addukidde mu kkooti enkulu lwa ‘Coronavirus’

Waliwo munnayuganda addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala ng’asaba kkooti, okuyimiriza okulonda kwa 2021 olwa ssenyiga eyavudde mu ggwanga erya China owa Coronavirus okweyongera okusaasanira ensi yonna.

Abbey Mgugu ng’akulembeddwamu bannamateeka be Sanywa, Wabwire and Company Advocates agamba nti Uganda, nsi etambulira ku nkola eya dimokulasiya nga bannayuganda balina okulonda abakulembeze baabwe nga bayita mu kalulu aka mazima n’obwenkanya kyokka balina okulonda nga tebalina kutya kwonna.

Agamba nti mu kiseera kino, Gavumenti erina okuvaayo okulwanyisa obulwadde obwa Coronavirus obweyongedde okusaasana n’okuteekawo embeera, bannayuganda okubakuuma nga balamu.

Ku nsonga ezo Mgugu  kw’asinzidde okutegeeza nti enkungana nga abegwanyiza entebe betuunda eri bannayuganda, kiyinza okuwa omwaganya obulwadde okuyingira eggwanga Uganda, okusaasana, ekiyinza okuvaako abantu okufa.

Agamba nti okwongezaayo okulonda, kigenda kuyamba nnyo, okulwanyisa obulwadde, bannayuganda okubakuuma nga balamu n’okuteekawo embeera y’okulonda nga tewali kweralikirira kwonna mu kaseera akatuufu.

Mu kkooti, ayagala kkooti eyimirize okulonda n’okulangirira akaseera ka kazigizigi ku nsonga y’ebyobulamu mu ggwanga Uganda.

Webukeeredde enkya ya leero, ng’abantu abasukka 125,000 bebalwadde mu nsi yonna ate nga abaakafa obulwadde basukka 4,600.

The post Mwongezeeyo okulonda kwa 2021, wuuno munnayuganda addukidde mu kkooti enkulu lwa ‘Coronavirus’ appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Mwongezeeyo okulonda kwa 2021, wuuno munnayuganda addukidde mu kkooti enkulu lwa ‘Coronavirus’"

Post a Comment