LABA SSENTE! Kenzo alaze ebimu ku by’obugagga bye bya bukadde bwa ssente, kino kye bayita okuyoola amaja mu talenti
Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti mu Uganda, y’omu ku bayimbi abafunye ssente nga bayita mu talenti y’okuyimba.
Kenzo ku myaka 30, y’omu ku bayimbi abagagga kuba alina ennyumba ez’enjawulo omuli n’ezipangisibwa, alina amataka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ate alaze nti y’omu ku basinga okuvuga emmotoka ez’ebbeeyi.
Kenzo alaze eky’okulabirako nti tewali mbeera yaluberera kuba yali omu ku baana abaali ku nguudo kyokka mu kiseera kino olwa talenti y’okuyimba, afunye ebintu eby’enjawulo kuba mu Uganda, ye muyimbi akyasinze okugobererwa abantu mu nsi yonna n’okuwangula ‘Award’ ez’amaanyi omuli BET.
Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ezimu ku mmotoka ze era agambye nti 3 za muntu omu, “3 for one person”
Emmotoka za Kenzo ziri mu bukadde bwa ssente era alaga nti singa omuntu yenna ajjumbira okukola, buli kimu kisoboka.
The post LABA SSENTE! Kenzo alaze ebimu ku by’obugagga bye bya bukadde bwa ssente, kino kye bayita okuyoola amaja mu talenti appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "LABA SSENTE! Kenzo alaze ebimu ku by’obugagga bye bya bukadde bwa ssente, kino kye bayita okuyoola amaja mu talenti"
Post a Comment