AUDIO! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima ku kya Gavumenti okuwagira ekivvulu kye e Kololo, atabukidde abayimbi

AUDIO! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima ku kya Gavumenti okuwagira ekivvulu kye e Kololo, atabukidde abayimbi

Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo avuddemu omwasi ku bigambibwa nti yafunye ssente okuva mu kibiina kya NRM okutegeka ekivvulu.

Kenzo etegese ekivvulu ekituumiddwa Eddy Kenzo Music Festival mu kisaawe e Kololo nga 28, March, 2020 olunnaku lulamba.

Agamba nti agenda kweyambisa ekivvulu okusiima abawagizi be omuli okubawa ebirabo nga Boda Boda n’okufuna omukisa okulinya ku nnyonyi.

Wabula ebigambo bizze byogerwa nti ekivvulu kya Kenzo kiwagiddwa Gavumenti era mbu yamuwadde n’ekifo ku bwereere, ennyonyi ebyokwerinda ssaako n’okufuna ssente okuleeta abayimbi okuva ebweru w’eggwanga.

Kenzo agamba nti mu Uganda, mulimu abantu ab’enjawulo abamulwanyisa mu ngeri ez’enjawulo n’ekigendererwa eky’okumusuula era y’emu ku nsonga lwaki bateekawo emboozi nti Gavumenti yamuwadde ssente n’ebintu ebirala.

The post AUDIO! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima ku kya Gavumenti okuwagira ekivvulu kye e Kololo, atabukidde abayimbi appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima ku kya Gavumenti okuwagira ekivvulu kye e Kololo, atabukidde abayimbi"

Post a Comment