Poliisi ekutte abakulembeze ba Kasolo e Kawempe, abakyala bakaabye nga batwalibwa mu kaduukulu

Poliisi ekutte abakulembeze ba Kasolo e Kawempe, abakyala bakaabye nga batwalibwa mu kaduukulu

Poliisi ekutte abantu babiri (2) abaludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Kawempe.

Abakwattiddwa kuliko Ismah Nyanzi amanyikiddwa nga Natabula ne Abdulla Mabina nga yeeyita Bashiru nga bonna batuuze b’e Kawempe, abakulembera akabinja k’ababbi aka Kasolo.

Okusinzira kw’akulira Poliisi y’e Kawempe Umar Kitaaka, Poliisi yategeezeddwa nti waliwo abantu abali mu kutigomya abatuuze kyokka webatuukidde okubakwata nga ye Nyanzi ne munne abaakava e Luzira gye bakulungudde emyaka esatu (3).

Okubakwata, baasangiddwa nga bagezaako okubba abatuuze okuli Emmanuel Katumba ne Festo Kakonge nga bonna batuuze b’e Kawempe.

Poliisi egamba nti akabinja ka Kasolo, kaludde nga benyigira mu kutigomya abatuuze ku luguudo lwa Mbogo, Kawempe Ku taano, mu nzigota e Bwaise n’ebitundu bye Kawempe eby’enjawulo.

Mu kiseera kino abakwate bali ku Poliisi y’e Kawempe ku misango gy’obubbi era fayiro z’emisango kuliko SD90/03/11/2019 ne SD95/09/02/2020.

Okukwatibwa kwa bakulembeze ba Kasolo, kiwaliriza abakyala abamu okukaaba olw’essanyu nga bagamba nti bawonye ababbi ababadde bazeemu okutigomya ekitundu kyabwe.

The post Poliisi ekutte abakulembeze ba Kasolo e Kawempe, abakyala bakaabye nga batwalibwa mu kaduukulu appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Poliisi ekutte abakulembeze ba Kasolo e Kawempe, abakyala bakaabye nga batwalibwa mu kaduukulu"

Post a Comment