Poliisi ekambuwadde ku by’okufa kw’omuyimbi Kizito, efulumizza obukwakulizo obukambwe ku bannansi ne Famire

Poliisi ekambuwadde ku by’okufa kw’omuyimbi Kizito, efulumizza obukwakulizo obukambwe ku bannansi ne Famire

Gavumenti mu ggwanga erya Rwanda egaanye okusaba kw’ebitongole by’eddembe ly’obuntu okuteekawo okunoonyereza okw’enjawulo okwetengeredde ku by’okuttibwa kw’omuyimbi Kizito Mihigo abadde yegulidde erinnya mu kuyimba ennyimba z’eddini mu ggwanga erya Rwanda.

Kizito yasangiddwa ng’afiiridde mu kaduukulu ka poliisi ku Mmande ku makya.

Yali yakwatibwa ku Lwokutaano lwa sabiti ewedde oluvanyuma lw’okusangibwa okumpi n’ensalo y’eggwanga erya Burundi ku bigambibwa nti, yali agezaako okudduka mu ggwanga okwegatta ku batujju mu ggwanga erya Burundi, abaagala okutabangula eggwanga erya Rwanda.

Emyaka 5 egiyise, Kizito yali yasindikibwa mu kkomera okumala emyaka 10, ku misango gy’ogezaako okutta omukulembeze w’eggwanga erya Rwanda Paul Kagame n’okusiiga Gavumenti ye enziro.

Mu 2018, Kagame yamusonyiwa ne bamuyimbula  kyokka ne bamulagira nti alina okusaba okufuluma eggwanga n’okuwa ensonga ezirimu eggumba.

Wabula okusangibwa Kizito ng’afiiridde mu kaduukulu ka poliisi, ebitongole by’eddembe ly’obuntu biwakanya alipoota ya Poliisi nti yetta ng’abasaba okuteekawo okunoonyereza okwetengeredde.

Wabula omwogezi w’ekitongole ekinoonyereza ku misango ku ggwanga erya Rwanda ekya Rwanda’s Investigation Bureau, Marie Michelle Umuhoza, agambye nti Rwanda yeetengeredde era esobola bulungi nnyo, okunoonyereza ku buli nsonga yonna.

Ebitongole okuli ekya Human Rights Watch, Amnesty International ne Commonwealth Human Rights Initiative bikyalemeddeko nga bigamba nti Kizito ayinza okuba yattibwa.

The post Poliisi ekambuwadde ku by’okufa kw’omuyimbi Kizito, efulumizza obukwakulizo obukambwe ku bannansi ne Famire appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Poliisi ekambuwadde ku by’okufa kw’omuyimbi Kizito, efulumizza obukwakulizo obukambwe ku bannansi ne Famire"

Post a Comment