LABA OKUSWALA! Kyaddaki Rema ayogedde amazima ku by’okukola ‘Nika’ ne Kenzo, amusekeredde ku by’okwesoma mu bantu
Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula yewozezaako ku bigambo bya Eddy Kenzo eyali bba nti baakola omukolo gwa ‘Nika’ mu kiseera nga bali bombi, ekitegeeza okuwoowa.
Kinnajjukirwa nti oluvanyuma lwa Rema okulaga ensi nti afunye omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya omwaka oguwedde ogwa 2019, Kenzo yavaayo nagamba nti ye ne Rema baakola omukolo gwa Nika era abadde naye mu mateeka.
Wabula Rema avuddeyo ku nsonga eyo, okusangulawo obulimba bwa Kenzo mu bantu.
Rema agamba nti ye ne Kenzo mu Uganda bamanyikiddwa nnyo kuba basereebu nga singa omukolo gwa Nika gwakolebwa wakati we ne Kenzo, buli muntu yandibadde ogutegeera.
Omuyimbi Rema mukyala wa Dr. Hamzah gwe yayanjula mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka bw’abadde ayogerako ne munnamawulire MC Ibra, agambye nti, “Am thinking if it was there singa mwakimanya kuba tewali kyemutamanya we are public figures and if it was there era mwandibadde mukimanya”
Rema okutandika okwogera ku nsonga ez’enjawulo, kigenda kuyambako okusangulawo obulimba bwa Kenzo bwe yasasaanya mu bannayuganda omwaka oguwedde ogwa 2019 ku nsonga ze ne Rema nga yeyambisa emikutu egy’enjawulo omuli Face Book, WhatsApp n’emirala.
The post LABA OKUSWALA! Kyaddaki Rema ayogedde amazima ku by’okukola ‘Nika’ ne Kenzo, amusekeredde ku by’okwesoma mu bantu appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "LABA OKUSWALA! Kyaddaki Rema ayogedde amazima ku by’okukola ‘Nika’ ne Kenzo, amusekeredde ku by’okwesoma mu bantu"
Post a Comment