KYOKKA ABASAJJA! Kenzo alaze lwaki teyeguya kugenda kwa Rema, awadde ensonga emu ekyamudde abawagizi be

KYOKKA ABASAJJA! Kenzo alaze lwaki teyeguya kugenda kwa Rema, awadde ensonga emu ekyamudde abawagizi be

Omuyimbi Eddy Kenzo alaze lwaki teyeguya kugenda kwa Rema Namakula eyali mukyala we wadde yali yamuzaalamu omwana.
Rema mu November wa 2019, yayanjula Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo Kenzo.
Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa kyokka oluvanyuma lwa Rema okugenda, alina ennyimba 2 omuli ssemyekozo ne Tweyagale, okulaga nti ye alina kusanyusa bannayuganda, okugenda kwa Rema tekulina kumuggya ku mulamwa ng’omuyimbi.

Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwongera okuwa abawagizi be essannyu n’okulaga nti Rema okugenda bibaawo mu baagalana era agambye nti, “Nze Nesiga mukama katonda. Ebisigadde byansi“.

Mu luyimba lwa Kenzo, Tweyagale era yayimba ebigambo ebiraga nti eby’ensi bya kufa kuleka era agamba nti “Nze eno ensi tenemazaamu, Dunia tenemazaamu, Tenkozesa bintu bikyaamu, Seguya mwanadamu, Kuba abamu muli bakyaamu, Eh muli bakyaamu, Nze ndiwo kubeera nice“.

The post KYOKKA ABASAJJA! Kenzo alaze lwaki teyeguya kugenda kwa Rema, awadde ensonga emu ekyamudde abawagizi be appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KYOKKA ABASAJJA! Kenzo alaze lwaki teyeguya kugenda kwa Rema, awadde ensonga emu ekyamudde abawagizi be"

Post a Comment