BITABUSE! Douglas Lwanga akooye akamanyiro, ayogedde amazima ku by’okuva ku NBS TV

BITABUSE! Douglas Lwanga akooye akamanyiro, ayogedde amazima ku by’okuva ku NBS TV

Kyaddaki munnamawulire Douglas Lwanga awakanyiza ebyogerwa nti ali mu ntekateeka okuva ku NBS TV n’okwesonyiwa eby’okukola mu Next Media.

Okuva sabiti ewedde, amawulire gabadde gayitingana ku mikutu gimukwanira wala oba giyite ‘social media’ nti Douglas naye agenda kuva ku NBS kuba yafunye omulimu omulala oguyingiza obulungi ssente.

Wabula Douglas bw’abadde awayamu naffe agambye nti, ” sirina ntekateeka yonna kuva ku NBS wadde Next Media, ago amawulire makyamu nnyo”.

Mungeri y’emu agambye nti, “abantu balina MBS ku ssimu zaabwe ate tebalaba kyakuzikozesa nga y’emu ku nsonga lwaki basasaanya amawulire amakyamu”.

Abakozi bangi abavudde ku NBS TV olw’ensonga ezitamanyiddwa omuli Joseph Sabiiti, Raymond Mujuuni n’abalala ng’amawulire ga Douglas okugenda, abawagizi be, babadde balina okweralikirira.

Ebigambo bya Douglas, biraga nti akooye akamanyiro abantu okusasaanya amawulire ag’obulimba kuba kimwonoonera erinnya.

The post BITABUSE! Douglas Lwanga akooye akamanyiro, ayogedde amazima ku by’okuva ku NBS TV appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BITABUSE! Douglas Lwanga akooye akamanyiro, ayogedde amazima ku by’okuva ku NBS TV"

Post a Comment