BAMBI! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima lwaki atya okuddamu okukuba emmese mu nnyumba y’e Seguku, Hamzah wa Rema akyanemeseza
Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo ayogedde amazima lwaki alina okutya okuddamu okwebaka mu nnyumba ye Seguku mwe yali abeera ne mukyala we Rema Namakula.
Mu kiseera kino Rema ali mu bufumbo bwa Dr. Hamzah Ssebunya oluvanyuma lw’okumwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka nga 14, November, 2019.
Wabula oluvanyuma lwa Rema okuva mu maka e Seguku mu 2019, Kenzo yagaana okuddamu okugisulamu n’okugibeeramu era mu kiseera kino anoonya muntu ayinza kugipangisa oba okugigula.
Bwe yabadde ayogerako ne munnamawulire MC Ibrah, Kenzo yawadde ensonga lwaki tasobola kuddamu kugisulamu era yagambye nti “nava mu nnyumba eno negenda olw’obuzibu obwaliwo mu famire ne ndowooza nti nja kudda kyoka nalaba ng’ebintu tebiteredde byongera kwonooneka, Omuntu wange nansindikira mesegi nga leero, nangamba nti mu wiiki 2 okuva kati ngenda kwanjula, it was a very big surprise, kizibu nnyo omuntu okugamba nti nkukwanye leero enkya twanjule, walabika waliwo process empavu era nagamba how can this even happen, naye tomanya, simunenya“.
Mu bigambo bye, Kenzo alaga nti alina okutya nti Rema ayinza okuba yanyumya akaboozi mu nnyumba ye ne Dr. Hamzah mu kiseera ng’ali ebweru w’eggwanga nga bafunye obutakaanya era kirabika akuba obufaananyi nga Rema ali mu mukwano ne Hamzah nga y’emu ku nsonga lwaki tasobola kuddamu kwebaka mu nju ye Seguku.
The post BAMBI! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima lwaki atya okuddamu okukuba emmese mu nnyumba y’e Seguku, Hamzah wa Rema akyanemeseza appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "BAMBI! Kyaddaki Kenzo ayogedde amazima lwaki atya okuddamu okukuba emmese mu nnyumba y’e Seguku, Hamzah wa Rema akyanemeseza"
Post a Comment