Yiino ‘List’ ya basereebu abazze baawukana ne baganzi baabwe lwa butamalaako mu kaboozi n’empisa embi
Mu nsi y’omukwano, waliwo abantu abeegomba okubaako mu laavu ne basereebu omuli abayimbi, bannakatemba, abasambi b’omupiira, abakozi ku Laadiyo oba ttiivi n’abantu abalala abasereebu mu ngeri zaabwe.
Wabula newankubadde waliwo basereebu abalina obufumbo obwegombesa, waliwo abantu ab’enjawulo omuli abasajja n’abakyala abalemeddwa obufumbo wadde bafumbiddwa basereebu okuli
1 – Cindy mu February w’omwaka 2014 yayawukana ne bba Mario Brunette.
2 – Sophie Nantongo yanoba ewa Abdul Mumiru Kagoma n’afumbirwa Sam Ssimbwa mu 2011 ate mu 2012 ne bakola okwanjula.
3 – Haruna Mibiru yalemwa mukazi we Faridah gwe yazaalamu omwana we era kati alina abakyala balala.
4 – Dr. Tee yalemagana ne Betty Mpologoma n’awasa Grace Malayika.
5 – Iryn Namubiru ne bba, Frank Morel baayawukana mu October wa 2012 ng’amulumiriza okumutulugunya mu bufumbo.
6 – Stecia Mayanja yanoba mu maka ga Fred Kitaka mu October wa 2012.
7 – Judith Babirye yanoba ewa Niiwo mu 2009. Yafuna omusajja omulala Omubaka Eng. Paul Musoke Ssebulime gwe yayanjula mu bazadde mui 2018.
8 – Daniella yanoba ewa Chameleone mu August wa 2011 nga Chameleone asiramuse kyokka oluvanyuma badingana.
9 – Juliana Kanyomozi yayawukana ne Amon Lukwago.
10 – Omulangira Ssuuna yayawukana ne Pherri Kim
11 – Desire Luzinda yayawukana ne Ken Ntaro
12 – Sara Zawedde yayawukana ne Charles Karangwa na kati Sara agamba nti akyanoonya omusajja omutuufu.
13 – Eddy Kenzo yayawukana ne Rema Namakula mu 2019. Rema yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya ate Kenzo akyanoonya.
14 – Mc Kats yayawukana ne kabite we omuyimbi Fille Mutoni kyokka oluvanyuma badingana.
15 – Bad Black yayawukana ne Meddie Sentongo
16 – Bebe Cool yafuna obutakaanya ne mukyala Zuena Kirema kyokka oluvanyuma badingana wakati mu laavu.
The post Yiino ‘List’ ya basereebu abazze baawukana ne baganzi baabwe lwa butamalaako mu kaboozi n’empisa embi appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Yiino ‘List’ ya basereebu abazze baawukana ne baganzi baabwe lwa butamalaako mu kaboozi n’empisa embi"
Post a Comment