VIDIYO! Faridah Nakazibwe owa NTV asomoozeza Nwagi engeri okunyeenya ddiifu, alese abasajja nga basabbaladde lwa bukodyo

VIDIYO! Faridah Nakazibwe owa NTV asomoozeza Nwagi engeri okunyeenya ddiifu, alese abasajja nga basabbaladde lwa bukodyo

Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe alaze nti mukyala alina talenti mu bintu eby’enjawulo wadde mu Uganda amanyikiddwa ng’omusomi w’amawulire g’oluganda.

Nakazibwe myaka 35 mukyala muzadde alina abaana kyokka wadde y’omu ku basiinga okusoma amawulire, alaze nti mulungi nnyo mu kuzina amazina era singa afuna omukisa gwonna okuvuganya, ayinza okuwangula.

Ku mukutu ogwa Instagram, ataddeyo vidiyo ng’ali ne mukwano gwe bazinira ku luyimba lwa Cindy Sanyu ‘Boom Party’ kyokka oluvanyuma muwala we Aaliyah Ankunda Ashurah amwegaseeko okuvuganya mu kunyeenya ekiwato ne ddiifu.

Mu Uganda, Winnie Nwagi ye mukyala omuyimbi abadde akutte akati mu kunyeenya ekiwato ne ddiifu mu nnyimba ez’enjawulo ku mitimbagano gya yintaneeti nga facebook, Instagram n’emirala kyokka Nakazibwe alaze nti mwetegefu okuvuganya kuba naye alina buli kimu era vidiyo ye ku Instagram erese bangi ku basajja nga basabbaladde.

 

View this post on Instagram

Eyo warm-up. The real dance is coming 💃💃

A post shared by faridah (@fsnakazibwe18) on

The post VIDIYO! Faridah Nakazibwe owa NTV asomoozeza Nwagi engeri okunyeenya ddiifu, alese abasajja nga basabbaladde lwa bukodyo appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "VIDIYO! Faridah Nakazibwe owa NTV asomoozeza Nwagi engeri okunyeenya ddiifu, alese abasajja nga basabbaladde lwa bukodyo"

Post a Comment