VIDIYO! Eya Spice Diana ewooma nnyo kuba erimu akawoowo n’enkoko, wuuno omusajja agyeeyo ebyama, nze sitya kuswala

VIDIYO! Eya Spice Diana ewooma nnyo kuba erimu akawoowo n’enkoko, wuuno omusajja agyeeyo ebyama, nze sitya kuswala

Obuyiiya mu bannayuganda bweyongedde ng’abantu bakola ebintu eby’enjawulo okunyoonya ssente okutambuza obulamu.
E Jinja, waliyo omusisi wa chapati, akola ‘Rolex’ mu mannya ag’enjawulo era agamu ku mannya ye Spice Diana.

Mu Uganda, bw’oyogera ku Spice Diana, ebirowoozo byanguwa okugenda ku muyimbi kyokka e Jinja, abatuuze balowooza ku kika kya Rolex.

Issa Bagga omu ku bakozi mu kifo ekitunda Rolex ekya ‘The Rolex Joint’ e Jinja agambye nti bangi ku bawagizi be bagamba nti, “Rolex ya Spice Dina y’emu kwezo esinga okuwooma era abantu ze basinga okusaba“.

Mungeri y’emu Bagga agambye nti ayagala nnyo omulimu gwe kuba afunamu akasente okwebezaawo era takyatya kuswala.
Bannayuganda okutunda Rolex mu mannya g’omuyimbi Spice Diana, kabonero akalaga nti asajjakudde mu kisaawe ky’okuyimba era alina abawagizi bangi.

 

The post VIDIYO! Eya Spice Diana ewooma nnyo kuba erimu akawoowo n’enkoko, wuuno omusajja agyeeyo ebyama, nze sitya kuswala appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "VIDIYO! Eya Spice Diana ewooma nnyo kuba erimu akawoowo n’enkoko, wuuno omusajja agyeeyo ebyama, nze sitya kuswala"

Post a Comment