Taata akaligiddwa emyaka 13 lwa kusobya ku muwala we namufunyisa n’olubuto ku myaka 12
Kkooti enkulu e Luweero, eriko omusajja gwesindise mu nkomyo okusibwa emyaka 13 olwa kusobya ku muwala we namufunyisa n’olubuto.
Charles Minani myaka 33 nga mutuuze ku kyalo Kidolindo mu ggombolola y’e Bamunanika, mu kkooti ekirizza emisango gyonna.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Beatrice Alok Odongo nga mu August, 2016, Minani yasendasenda muwala we namusobyako nga mu kiseera ekyo, wa myaka 12.
Odongo ategezezza omulamuzi nti Minani yakiriza dda emisango, okwanguyiza kkooti okutambuza emirimu mu nkola eya “Plea bargain” era mwetegefu okusibwa emyaka 13.
Omulamuzi Vincent Okwang mukuwa ensala ye, asingisizza Minani emisango gy’okusobya ku mwana omuto, kwe kumusiba emyaka 13 kyokka amusaliddeko ebbanga lya myaka 3 omwezi 2 ne nnaku 20 zaakulungudde ku limanda.
Mu kkooti y’emu ettudde mu kibuga Luweero, eriko omusango omulala Robert Obala ali mu kwewozaako ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 4.
The post Taata akaligiddwa emyaka 13 lwa kusobya ku muwala we namufunyisa n’olubuto ku myaka 12 appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Taata akaligiddwa emyaka 13 lwa kusobya ku muwala we namufunyisa n’olubuto ku myaka 12"
Post a Comment