Okusembeza Rema mu bulamu bwange yali nsobi era nejjusa, Kenzo alaze lwaki musanyufu olwa Dr. Hamzah okumuwonya olukokobe
Kyaddaki Omuyimbi Eddy Kenzo alaze lwaki musanyufu nnyo olwa Rema Namakula okuva mu bulamu bwe.
Mu Uganda, bangi ku bantu bagamba nti Rema y’omu ku bakyala abalabika obulungi, mukyala mulungi, ayimba bulungi, alina talenti, alina abawagizi, alina empisa wadde Sereebu era buli musajja yandibadde afuna omukyala nga ye kyokka Kenzo ye agamba nti wadde Rema alina ebirungi bingi, teyejjusa kumusuulawo.
Agamba nti mu kiseera kino y’omu ku basajja abanoonya era anoonya omukyala agwanidde okudda mu bigere bya Rema nga tageenda kuddamu kwejjusa.
Kenzo agamba nti, “Saagala kuddamu kukola nsobi y’emu gya nnakola emabega. Njagala nfune omuntu nga twetegeera bulungi nnyo kuba kati nze ndi public figure buli kimu kirina kuba Purblic famire yange, be bawagizi bange“.
Kenzo agamba nti omwaka gunno ogwa 2020, alina okufuna omukyala omulala okudda mu bigere bya Rema kyokka alina okwetegereza ennyo omukyala kuba talina kuddamu kukola nsobi gye yakola okusembeza Rema mu bulamu bwe nga tannabba kumwetegereza.
Rema yafuna dda omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya era ye ali mu ssannyu kuba omusajja ategeera kye bayita omukwano ate Kenzo akyanoonya mukyala.
The post Okusembeza Rema mu bulamu bwange yali nsobi era nejjusa, Kenzo alaze lwaki musanyufu olwa Dr. Hamzah okumuwonya olukokobe appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Okusembeza Rema mu bulamu bwange yali nsobi era nejjusa, Kenzo alaze lwaki musanyufu olwa Dr. Hamzah okumuwonya olukokobe"
Post a Comment