Mukomye okulimba ensi, Bebe Cool aleese bwiino yenna lwaki Chaka Chaka yagobeddwa mu Uganda ku muddumu gw’emmundu, abaswazizza

Mukomye okulimba ensi, Bebe Cool aleese bwiino yenna lwaki Chaka Chaka yagobeddwa mu Uganda ku muddumu gw’emmundu, abaswazizza

Kyaddaki Omuyimbi Bebe Cool naye avuddeyo ku nsonga za Chaka Chaka eyagobeddwa mu Uganda ku muddumu gw’emmundu.

Chaka Chaka, enzaalwa y’e South Africa yazze mu Uganda okuyimba mu Nkuuka mu lubiri e Mmengo nga 31, December, 2019, ng’abantu ba Kabaka bayingira omwaka omuggya ogwa 2020.

Ku Lwokubiri ku makya amagye gaasazeeko wooteeri ya Pearl of Africa e Nakasero gye yasuze.

Abajaasi ne poliisi abaabadde ne mmundu beegattiddwako abaserikale abaabadde mu leeya ne basalako ekkubo erigenda ku woteeri okuva ku kkubo eriyingira mu maka g’obwapulezidenti e Nakasero, okuyita ku kkanisa ya All Saints okutuukira ddala ku woteeri.

Ku mulyango gwa wooteeri we waabadde okwaza buli ayingira. Okukukkiriza okuyingira ng’osooka kunnyonnyola ky’ogenda okukolayo ate abajaasi abalala baayingidde munda mu wooteeri ku ssaawa nga 5 ne balagira Chaka Chaka afulume.

Fred Enanga omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti Chaka Chaka yabadde talina biwandiiko ebimukiriza okukola omulimu gwonna mu Uganda kuba viza ye yabadde eraga nti yazze mu Uganda kukyala wabula ssi kwenyigira mu mulimu gwonna oguvaamu ssente omuli n’okuyimba.

Ku nsonga eyo, Bebe Cool agamba nti Uganda erina amateeka era buli muntu yenna alina okutambulira mu mateeka ga Uganda.

Mungeri y’emu agambye nti obutamanya y’emu ku nsonga lwaki abantu abaamuleese, baalemeddwa okumufunira ebiwandiiko ebimukkiriza okuyimba kuba yabadde azze kukola ssente nga yetaaga ‘work visa’ ssi ‘visitor’s visa’ emukkiriza okukyala mu Uganda.

Bebe Cool era agambye nti Chaka Chaka mukyala mukulu nga yakola nsobi okweyingiza mu byobufuzi bya Uganda ku myaka gye.

Kinnajjukirwa nti Chaka Chaka bwe yajja mu Uganda omwaka oguwedde ogwa 2018 mu kiseera Bobi Wine we yabeerera mu kkomera yamuyita Nelson Mandela wa Uganda era n’akunga bannayuganda okukozesa buli kye balina okuli emikutu gya yintaneti okulwanirira gwe yayita “Mandela wange”.

Bobi Wine yali akwattiddwa ku bigambibwa nti bwe yali anoonyeza Kassiano Wadri akalulu ng’omubaka w’ekibuga Arua okudda mu bigere by’omugenzi Ibrahim Abiriga, baayingirira konvoyi y’emmotoka za Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, ekintu ekimenya amateeka.

The post Mukomye okulimba ensi, Bebe Cool aleese bwiino yenna lwaki Chaka Chaka yagobeddwa mu Uganda ku muddumu gw’emmundu, abaswazizza appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Mukomye okulimba ensi, Bebe Cool aleese bwiino yenna lwaki Chaka Chaka yagobeddwa mu Uganda ku muddumu gw’emmundu, abaswazizza"

Post a Comment