MC Kats alemeddeko okuwa Fille essannyu okumwerabiza ebigambo by’abantu, alangiridde olunnaku lw’omukolo gwe mu Kampala
Oluvanyuma lwa Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats okutekateeka ekivvulu ‘King of the MIC’ eky’omulundi ogwokubiri mu Kampala ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2019, nate alangiridde ekivvulu ekirala.
Amawulire gabadde gayitingana nti MC Kats, agenda kukuba mukyala we Fille Mutoni embaga nga 14, February, 2020 ku lunnaku lwa baagalana (Valentine’s Day).
Wabula MC Kats bwe yabadde mu kivvulu ku Uganda Museum nga Pulogulamu ya Uncut ku NBS ejjaguza okuweza omwaka, yakoowodde abantu bonna okuggya mu bungi okumuwagira nga 14, February, 2020.
MC Kats yagambye nti alina ekivvulu ekitumiddwa ‘Party with Mc Kats‘, ekiraga nti tageenda kukuba Fille Mbaga ku lunnaku olwo.
Ennaku zino, ebivvulu bya MC Kats byonna, mukyala we Fille alina okuyimba okusanyusa abantu ssaako naye okufuna essannyu okumwerabiza ebigambo by’abantu.
Fille abadde mu birowoozo oluvanyuma lwa Kats okulangirira nti alina akawuka akaleeta siriimu nga bangi ku bantu bagamba nti naye mulwadde kuba bba Kats mulwadde ate yamuzaalamu omwana.
Wabula gye buvuddeko, Kats yategeeza eggwanga nti wadde ye mulwadde, abakyala bonna abamuzaalira abaana ssaako n’abaana bonna tekuli n’omu mulwadde.
The post MC Kats alemeddeko okuwa Fille essannyu okumwerabiza ebigambo by’abantu, alangiridde olunnaku lw’omukolo gwe mu Kampala appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "MC Kats alemeddeko okuwa Fille essannyu okumwerabiza ebigambo by’abantu, alangiridde olunnaku lw’omukolo gwe mu Kampala"
Post a Comment