LABA OKUSWALA! Kyaddaki ebyama bizuuse, abanene baleese bwiino yenna ku ngeri Kenzo gye yafunyemu emmotoka, teyataddeko wadde 100

LABA OKUSWALA! Kyaddaki ebyama bizuuse, abanene baleese bwiino yenna ku ngeri Kenzo gye yafunyemu emmotoka, teyataddeko wadde 100

Bannayuganda batabukidde omuyimbi Eddy Kenzo, oluvanyuma lw’okulaga kapyata y’emmotoka ku ntandikwa y’omwaka gunno.

Kenzo yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okulaga emmotoka kika kya Toyota Land Cruiser V8 2018 era kigambibwa eri mu bukadde bwa shs 500 – 600.

Ku mukutu ogwa Face Book, agamba nti alina okwesanyusa era y’emu ku nsonga lwaki yeetekamu ssente.

Wabula bannayuganda bamutabukidde oluvanyuma lw’okuteeka ekifaananyi ku Face Book ng’atudde ku mmotoka ye okulaga nti ali mu ssannyu mu kiseera kino.

Abagamba nti Kenzo yavudde ku nsonga z’abantu kuba abadde muwagizi w’ekisinde ki People Power ekikulemberwa omuyimbi Bobi Wine kyokka oluvanyuma lw’okukyalako mu State House Entebe, yasaze eddiiro kati muwagizi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Olw’obusungu, bagamba nti Pulezidenti Museveni yeyawadde Kenzo emmotoka nga bwe yakola ku Bebe Cool ne Catherine Kusasira kuba zonna zifanagana, alina okukomya okuwudiisa abantu.

Mungeri y’emu bagambye nti Kenzo yafunye emmotoka ku ssente z’omuwi w’omusolo kuba muganiriza nnyo, tasobola kusasaanya bukadde obusukka mu 500 okwetusaako emmotoka nga n’okwanjula mukyala we Rema Namakula kwamulema ne bamusuulawo.

The post LABA OKUSWALA! Kyaddaki ebyama bizuuse, abanene baleese bwiino yenna ku ngeri Kenzo gye yafunyemu emmotoka, teyataddeko wadde 100 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "LABA OKUSWALA! Kyaddaki ebyama bizuuse, abanene baleese bwiino yenna ku ngeri Kenzo gye yafunyemu emmotoka, teyataddeko wadde 100"

Post a Comment