Kyaddaki Bad Black ayogedde omulimu omutuufu mw’ajja ssente, obw’amalaaya yabuvaamu dda wadde yeyita Kawomera
Bad Black ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa ayogedde omulimu omutuufu mw’ajja ssente okwebezaawo ng’omukyala.
Black ng’ennaku zino asiiba mu Kampala ng’alya obulamu kuba ye agamba nti ssente weeri, alina okulya obulamu.
Bwe yabadde awayamu naffe, Bad Black yagambye nti, “Nze ndi mukyala nkozesa bwongo okufuna ssente, obw’amalaaya nabuvaamu kati nneenogera ssente ku magezi gange kuba nze ndi mukyala Kawomera. Nze ndi mu bitabo bya Gavumenti ku misango gy’okufera era nze ndi mukyala mufere era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda mpangisa mu Hotero kuba nze ndi frauder“.
Black yamanyika lwa ssente za muganzi we David Greenhalgh enzaalwa ya Bungereza wadde batabuka n’amusibisa ne mu kkomera e Luzira okumala emyaka ena olw’okubulankanya obuwumbi obusoba mu 11.
Bano n’okutuusa kati bakyakwatagana kyokka takyamupokera ssente nga bwe yakolanga. Ssente kati azimuwa okusinzira ku bwetaavu oba nga waliwo ensonga enkulu gye yeetaaga okukolako era Omuzungu y’alabira n’abaana ba Black n’okubasomesa.
The post Kyaddaki Bad Black ayogedde omulimu omutuufu mw’ajja ssente, obw’amalaaya yabuvaamu dda wadde yeyita Kawomera appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Kyaddaki Bad Black ayogedde omulimu omutuufu mw’ajja ssente, obw’amalaaya yabuvaamu dda wadde yeyita Kawomera"
Post a Comment