KITALO! Omuzannyi w’akapiira attiddwa mu bukambwe, afumitiddwa ebiso mu lubuto, Poliisi erangiridde ekiddako ku batemu

KITALO! Omuzannyi w’akapiira attiddwa mu bukambwe, afumitiddwa ebiso mu lubuto, Poliisi erangiridde ekiddako ku batemu

Poliisi y’e Jinja etandiise okunoonyereza abatemu, abasse omusambi w’omupiira Edirisa Basalirwa abadde azanyira mu kirabu ya Good News football mu kibuga Jinja.

Basalirwa yabadde ku dduyiro, abatemu abatamanyiddwa gye bava ne bamuwamba ne bamutwala mu nnimiro y’e Kkanisa ya Christ’s Cathedral mu Tawuni Kanso y’e Bugembe mu disitulikiti y’e Jinja ne bamutunga ebiso mu lubuto emirundi ebbiri (2).

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti Basalirwa yavuddemu omusaayi omungi era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro e Jinja.

Mungeri y’emu agambye nti, yabadde ku mirimu gye, kwe kulengera omusajja mu nnimiro ali mu maziga, yenna abunye omusaayi, kwe kumuddusa mu ddwaaliro, kyokka yafudde bakamutusaayo.

Musa Kyobe nga naye mutuuze, awanjagidde Poliisi okunoonyereza abatemu abenyigidde mu kutta Basalirwa kuba abadde omu ku bavubuka abalina empisa ku kitundu kyabwe.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, Diana Nandawula agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu era asuubiza Poliisi okunoonya abatemu okutuusa nga bakwattiddwa.

The post KITALO! Omuzannyi w’akapiira attiddwa mu bukambwe, afumitiddwa ebiso mu lubuto, Poliisi erangiridde ekiddako ku batemu appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "KITALO! Omuzannyi w’akapiira attiddwa mu bukambwe, afumitiddwa ebiso mu lubuto, Poliisi erangiridde ekiddako ku batemu"

Post a Comment