
ENTIISA! Abatuuze b’e Iganga bazudde omulambo ogutandise okuvunda, Poliisi erangiridde ekiddako wakati mu kiyongobero
Baca Juga
- Pastor Julie Mutesasira Finally Weds Wife In Pompous Ceremony After ‘She Said Yes’
- AUDIO: John Blaq Wakes Up From Music Slumber As Star Singer Drops New Hair Lifting Banger ‘Don’t Be Like’
- TUBIKOOYE! Obuganda butabukidde Poliisi olwa ttiyaggaasi, Kattikiro Peter Mayiga alangiridde ekiddako mu bukambwe
Entiisa ebutikidde abatuuze mu disitulikiti y’e Iganga bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja atamanyikiddwa mu kitundu nga gutandiise okuvunda.
Omulambo gusangiddwa mu lutobazi lwe Naigombwa.
Moses Muwaya, ssentebbe w’abalimi b’omuceere mu lutobazi lwe Naigombwa agambye nti omulambo gulabiddwa abaana abalenzi babiri (2) enkya ya leero ku Ssande abakedde okugenda okuvuba ebyenyanja.
Muwaya era agambye nti kiteeberezebwa nti omusajja yattibwa, omulambo gwe ne gusuulibwa mu lutobazi era gusangiddwa gulengejja ku mazzi.
David Ndaula, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Iganga agambye nti omulambo tegusangiddwamu kiwandiiko kyonna ate abadde tamanyiddwa mu kitundu.
Ndaula agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro Iganga okwekebejjebwa kyokka awakanyizza ebigambibwa nti yattiddwa okutuusa nga bafunye alipoota y’abasawo.
The post ENTIISA! Abatuuze b’e Iganga bazudde omulambo ogutandise okuvunda, Poliisi erangiridde ekiddako wakati mu kiyongobero appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "ENTIISA! Abatuuze b’e Iganga bazudde omulambo ogutandise okuvunda, Poliisi erangiridde ekiddako wakati mu kiyongobero"
Post a Comment