AUDIO! Ffe twamutta nga twagala ssente kuba gwe mulimu gwaffe, aba sipensulo abaakwatibwa ku by’okutta Mutebi bewanidde ku Poliisi
Kyaddaki abasajja babiri (2) abaakwattibwa ku misango gy’okuwamba n’okutta abantu, bakirizza emisango gyonna.
Banno okuli Alex Bamwine ne Emmanuel Kalema baakwatibwa sabiti ewedde ku by’okuwamba Ronald Mutebi Gugwa okuva mu Kampala sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 10, ne bamuttira mu mmotoka yaabwe namba UAR 066B, omulambo ne bagusuula ebbali w’ekkubo mu bitundu bye Kyetume mu disitulikiti y’e Mukono.
Poliisi yasobodde okweyambisa kkamera eziri ku nguudo okwekeneenya ebyali bigenda mu maaso n’okukwata abatemu, abaludde nga battira abantu mu mmotoka n’okubba ebintu byabwe nga beerimbise mu kuvuga sipensulo mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Bamwine ne Kalema bakirizza okuwamba n’okutta Mutebi ssaako n’okutwala ebintu bye.
Onyango era agambye nti Kalema ne munne bakirizza okwenyigira mu kubba abatuuze mu bitundu bye Kiboga ssaako ne Mubende wabula tewali yattiddwa, okuleka okutwala ebintu byabwe.
Essaawa yonna Bamwine ne Kalema batwalibwa mu kkooti.
Eddoboozi lya Onyango
The post AUDIO! Ffe twamutta nga twagala ssente kuba gwe mulimu gwaffe, aba sipensulo abaakwatibwa ku by’okutta Mutebi bewanidde ku Poliisi appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AUDIO! Ffe twamutta nga twagala ssente kuba gwe mulimu gwaffe, aba sipensulo abaakwatibwa ku by’okutta Mutebi bewanidde ku Poliisi"
Post a Comment