AUDIO ENKAMBWE! Emisambwa gitabudde Maama Fiina ne Ssenga Kulanama, baddukidde ku Poliisi olw’okutya okuttibwa, Ssabakabona Jjumba alajjanye

AUDIO ENKAMBWE! Emisambwa gitabudde Maama Fiina ne Ssenga Kulanama, baddukidde ku Poliisi olw’okutya okuttibwa, Ssabakabona Jjumba alajjanye

Bya Nalule Aminah

Olutalo lwongedde okubalukawo mu basawo b’ekinnansi wakati wa Ssenga Kulanama ng’amannya ge amatuufu ye Kezia Kulanama ne Maama Fiina.

Ssenga Kulanama ng’ali ne bba Jjumba Aligaweesa eyeeyita Ssabakabona akulira ab’eddiini y’obuwangwa bagamba nti bakooye embeera y’okutiisibwatiisibwa abantu ab’enjawulo n’ekigendererwa eky’okubatusaako obulabe.

Kulanama ne Jjumba baduukidde ku Poliisi e Katwe okuggulawo omusango gw’okutiisibwatiisibwa abantu ababatambulirako okubasuubizza okubatta era y’emu ku nsonga lwaki basuddewo amaka gaabwe mu bitundu bye Bwebajja ku lw’Entebbe, Mukono, ne Bujjuko okutuusa lwe bafunye enju gye bapangisa mu kifo ekyekusifu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Kulanama ne Jjumba balumirizza Maama Fiina okuba emabega w’abantu abaagala okubatta.

Eddoboozi lya Onyango

Okusika omuguwa wakati wa Maama Fiina ne Ssenga Kulanama kwabalukawo oluvannyuma lwa Ssenga Kulanama okulayizibwa nga pulezidenti bw’abasawo b’ekinnansi mu Uganda, ekintu Maama Fiina kyawakanya.

Maama Fiina agamba nti yalondebwa ku bwa pulezidenti bw’abasawo b’ekinnansi mu 2004 era wakuvaako nga yeeyagalidde.

Wabula abantu bagamba nti enjawukana ku bukulembeze bw’abasawo bw’ekinnansi zirina okukoma kuba emisambwa gye girina obuyinza okulonda omuntu omutuufu agwanidde okutambuza obulungi ensonga.

The post AUDIO ENKAMBWE! Emisambwa gitabudde Maama Fiina ne Ssenga Kulanama, baddukidde ku Poliisi olw’okutya okuttibwa, Ssabakabona Jjumba alajjanye appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO ENKAMBWE! Emisambwa gitabudde Maama Fiina ne Ssenga Kulanama, baddukidde ku Poliisi olw’okutya okuttibwa, Ssabakabona Jjumba alajjanye"

Post a Comment