Abadde yenyigidde mu kubba n’okutta aba Mobile Money akwattiddwa, asindikiddwa mu kkooti y’amaggye

Abadde yenyigidde mu kubba n’okutta aba Mobile Money akwattiddwa, asindikiddwa mu kkooti y’amaggye

Kyaddaki Poliisi ebikudde ekyama nti omusajja eyakwattiddwa ku misango gy’obubbi n’obutemu, asindikiddwa mu wansi w’ekitongole eky’amaggye, okutwalibwa mu kkooti y’amaggye.
David Kisuule nga munnamaggye, yakwattiddwa ku misango gy’okubba aba Mobile Money n’okubatta nga yeyambisa emmundu.
Kigambibwa, Kisuule aludde ng’emmundu agitambuliza mu kidomola ky’amazzi ekya kyenvu era nga bangi ku batuuze, balowooza atambulizaamu mmere bya bisolo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya sezibwa, Helen Butoto, Kisuule ateeberezebwa okuba mu kibinja kya babbi, abatta abantu mu bitundu bya Mukono, Lugazi, Njeru n’ebitundu ebimu mu Kampala n’okusingira ddala aba Mobile Money.
Mungeri y’emu agambye nti Kisuule yagiddwa ku Poliisi y’e Lugazi nakwasibwa ekitongole eky’amaggye era essaawa yonna bamutwala mu kkooti y’amaggye.
Emmundu gye baamusanze nayo, poliisi egamba nti ye yakozeseddwa mu kulumba owa Mobile Money Sofia Nakayaga ow’e Lugazi ne battirawo omukozi we Evelyn Nantale eyali mu gy’obukulu 16.

Ekifaananyi kya Bukedde

The post Abadde yenyigidde mu kubba n’okutta aba Mobile Money akwattiddwa, asindikiddwa mu kkooti y’amaggye appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Abadde yenyigidde mu kubba n’okutta aba Mobile Money akwattiddwa, asindikiddwa mu kkooti y’amaggye"

Post a Comment