Wuuno omuyimbi akwattiddwa ku by’okuwamba abaana 2 okusaddaka okuvuganya John Blaq mu 2020, Poliisi emwogezza ebyama

Wuuno omuyimbi akwattiddwa ku by’okuwamba abaana 2 okusaddaka okuvuganya John Blaq mu 2020, Poliisi emwogezza ebyama

Poliisi y’e Rubanda ekutte omuyimbi omuto ku by’okuwamba abaana babiri (2) okuli myaka 7 ne 8 okusaddakibwa, okusobola okweyongera amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba.

Apollo Basajja myaka 24 yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Kishanjje mu ggombolola y’e Nyakabungo mu disitulikiti y’e Rubanda ate mu katawuni k’e Ntungamo y’omu ku basiinga okumanyika mu kwoza emmotoka.

Omwana omu yamuggye ku kyalo Kishanjje mu katawuni k’e Rubanda ate omwana owokubiri ku kyalo Nyarutejja mu katawuni k’e Hamurwa.
Apollo asangiddwa n’abaana bombi nga abakwese ku ssomero lya God’s Mercy Nursery School.

Mu kwewozaako, yagambye nti abadde agenda kubatwala eri omusawo w’ekinnansi okusaddakibwa kuba alina okunoonya engeri yonna okutumbula talenti ye.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Apollo ali ku Poliisi y’e Rubanda ku misango gy’okuwamba abaana n’n’ekigendererwa eky’okutta era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Apollo agamba nti abadde alina esuubi nti okusaddaka abaana, kigenda kumuyamba nnyo okuvuganya abayimbi nga John Blaq abaliko mu kiseera kino n’okubayitako kuba naye alina talenti.

The post Wuuno omuyimbi akwattiddwa ku by’okuwamba abaana 2 okusaddaka okuvuganya John Blaq mu 2020, Poliisi emwogezza ebyama appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Wuuno omuyimbi akwattiddwa ku by’okuwamba abaana 2 okusaddaka okuvuganya John Blaq mu 2020, Poliisi emwogezza ebyama"

Post a Comment