Okulaba Gotv oba Dstv, aba Multi Choice bataddewo ekirabo kya bukadde 120 eri bakasitoma okuzza abaana ku massomero

Okulaba Gotv oba Dstv, aba Multi Choice bataddewo ekirabo kya bukadde 120 eri bakasitoma okuzza abaana ku massomero

Aba MultiChoice Uganda, batongoza ‘Promotion’ eya ‘Go Back To School’ ‘sasaanya amaja’ n’ekigenderwa eky’okuyamba bakasitoma baabwe abakozesa Gotv ne Dstv okuzza abaana ku massomero.

Mu Kampeyini eno, buli muzadde anaasangibwa nga yasasula ssente nga 1, December, 2019 okulaba Gotv oba Dstv ssaako n’abageenda okusasula ku ntandikwa ya Janwali, balina omukisa okuwangula 500,000/= buli omu.

Okusinzira ku Colin Asiimwe akulira obwa kitunzi mu MultiChoice Uganda ne Joan Semanda Kizza akulira eby’amawulire, ‘Promotion’ egenda kutambula okutuusa nga 31, Janwali, 2020.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya MultiChoice Uganda e Kololo, Asiimwe agambye nti balina okuyamba bakasitoma baabwe mu ngeri yonna mu ggwanga lyonna kuba bakola omulimu  gwamaanyi okuyamba Kampuni okukula n’okukola ssente.

Mungeri y’emu agambye nti okunoonyereza kulaga nti bangi ku bazadde bafuna okusomozebwa okw’amaanyi mu ttaamu esooka okuzza abaana ku massomero era y’emu ku nsonga lwaki MultiChoice Uganda evuddeyo okubakwasizaako nga basiima bakasitoma abajjumbidde okusasula ssente za Gotv oba Dstv mu biseera bino eby’ennaku enkulu omuli Desemba ne Janwali.

Bakasitoma 200 bebagenda okuwangula emitwalo 50 buli omu, buli sabiti okuva nga 6, Janwali, 2020 okutuusa nga 31, Janwali, 2020 era aba MultiChoice Uganda basuubira okusasaanya obukadde obusukka mu 120.

The post Okulaba Gotv oba Dstv, aba Multi Choice bataddewo ekirabo kya bukadde 120 eri bakasitoma okuzza abaana ku massomero appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Okulaba Gotv oba Dstv, aba Multi Choice bataddewo ekirabo kya bukadde 120 eri bakasitoma okuzza abaana ku massomero"

Post a Comment