Ffe tulina emiriro era tuli betegefu okugyeyambisa okusanyawo kasukaali mu mbeera yonna, Col. Bantaliza alabudde Bobi Wine ne banne

Ffe tulina emiriro era tuli betegefu okugyeyambisa okusanyawo kasukaali mu mbeera yonna, Col. Bantaliza alabudde Bobi Wine ne banne

Omumyuka w’omwogezi wa Gavumenti Col. Shaban Bantaliza alabudde abantu bonna abegwanyiza entebe ya Pulezidenti okukiggya mu birowoozo byabwe.

Ku lunnaku Olwomukaaga, mu  lukungana lwa bannakibiina kya NRM mu Kampala ku Nakivubo Blue Primary School, Col. Bantaliza yagambye nti asaasira nnyo abantu abalowoozo nti Gavumenti ya NRM esobola okuwaayo obuyinza kuba ekyo kisobola okubazaayo mu nsiko okubakolako. Mungeri y’emu yagambye nti alina emmundu satu (3) mu mmotoka ye ezirindiridde okukola omulimu. Agamba nti Bobi Wine ne banne baddembe okweyambisa kasukaali kyokka bbo tebasobola kweyambisa kasukaali bakozesa muliro era balina okweyambisa omuliro okuzikiza kasukaali okusobola okukuuma emirembe, “I pity people who think NRM government will hand over power, we would rather go back to the bush to sort these people. I have my three guns on standby in my car, let Bobi Wine and his group continue with their kasukali (sugar), for us we don’t use kasukali, we use fire and indeed we shall use fire to put off that kasukali to maintain peace“.

The post Ffe tulina emiriro era tuli betegefu okugyeyambisa okusanyawo kasukaali mu mbeera yonna, Col. Bantaliza alabudde Bobi Wine ne banne appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Ffe tulina emiriro era tuli betegefu okugyeyambisa okusanyawo kasukaali mu mbeera yonna, Col. Bantaliza alabudde Bobi Wine ne banne"

Post a Comment