BITABUSE! Poliisi ekutte abayimbi 3 ku by’okuyimba ennyimba z’obuseegu, baguddwako emisango emikambwe

BITABUSE! Poliisi ekutte abayimbi 3 ku by’okuyimba ennyimba z’obuseegu, baguddwako emisango emikambwe

Poliisi y’e Kasese ekutte abayimbi babiri (2) ssaako ne Pulodyusa omu (1) ku by’okufulumya oluyimba olujjudde obuseegu.

Abayimbi abakwatiddwa kuliko Loice Biira amanyikiddwa nga Lola Loyce, Joshua Kule ne Pulodyusa ate nga muwandiisi Nicholas Baluku amanyikiddwa nga Nico.

Okusinzira ku Poliisi, abakwate bafulumya oluyimba olumanyiddwa Obusihe (sweetness) olukubiriza abantu okujjumbira okunyumya akaboozi n’okweyambisa amaloboozi aganyumisa omukwano.

Vincent Twesige, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwenzori East, agamba nti oluyimba lwafulumizibwa mu 2017 kyokka abatuuze baludde nga bemulugunya ku luyimba olw’obuseegu obusukkiridde.

Ku nsonga eyo, Deo Shaiza akulira ekibiina ekigata abayimbi mu bitundu bye Rwenzori ekya Rwenzori Entertainment Association agambye nti oluyimba lusukkiridde obuseegu era kiteeberezebwa lwawandiikibwa n’okufulumizibwa nga banywedde ebitamiiza omuli enjaga.

Mungeri y’emu alabudde abayimbi okukomya okulowooza nti balina kweyambisa ennyimba ez’obuseegu, okutunda erinnya lyabwe n’okunoonya obugaanzi.

The post BITABUSE! Poliisi ekutte abayimbi 3 ku by’okuyimba ennyimba z’obuseegu, baguddwako emisango emikambwe appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BITABUSE! Poliisi ekutte abayimbi 3 ku by’okuyimba ennyimba z’obuseegu, baguddwako emisango emikambwe"

Post a Comment