Sheilah Gashumba akutudde kitaawe omutima, ayogedde amazima lwaki ali mu laavu ne God’s Plan era tewali muntu yenna ayinza kubaawula
Kyaddaki muwala wa Frank Gashumba akulira ekibiina kya Sisimuka Uganda, Sheilah Gashumba ayogedde amazima lwaki ali mu laavu ne Marcus Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan.
Sheilah ali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa ne God’s Plan era obulamu wakati waabwe butambula bulungi ddala.
Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuwa ensonga ye lwaki ali mu laavu ne God’s Plan.
Sheilah agamba nti Katonda yamutondera God’s Plan era malayika ye mu bulamu bwe, “You’re my Malaika, God made you perfectly for me“.
Olunnaku olw’eggulo, Gashumba yagambye nti omusajja yenna okutwala muwala we, aba famire balina okumwetegereza omwaka mulamba kuba waliwo abasajja abalina omuze gw’okumeketa amannyo, abatalina kutwala muwala we.
Sheilah okugamba nti God’s Plan malayika ye, kabonero akalaga nti wadde kitaawe tamatidde mulenzi, ye alina okugenda naye mu bufumbo obutukuvu singa afuna omukisa.
The post Sheilah Gashumba akutudde kitaawe omutima, ayogedde amazima lwaki ali mu laavu ne God’s Plan era tewali muntu yenna ayinza kubaawula appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "Sheilah Gashumba akutudde kitaawe omutima, ayogedde amazima lwaki ali mu laavu ne God’s Plan era tewali muntu yenna ayinza kubaawula"
Post a Comment