Kyaddaki Kenzo azzeemu okulangirira ebisanyizo by’omukyala anadda mu bigere bya Rema, Jazmine alinako 3

Kyaddaki Kenzo azzeemu okulangirira ebisanyizo by’omukyala anadda mu bigere bya Rema, Jazmine alinako 3

Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo azzeemu okulangirira ebisanyizo by’omukyala alina okudda mu bigere bya maama Aamal, Rema Namakula.

Kenzo agamba nti mu kiseera kino talina mukyala yenna mu bulamu bwe kuba akyalina ebiwundu ku mutima olwa mukwano gwe Rema okufuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya.

Wabula bwe yabadde ku NTV ku Lwokutaano, Kenzo yagambye nti alina okulinda okuwona, okusobola okuddamu okufuna omukyala.

Agamba nti omukyala gw’agenda okuwasa, alina okuba n’ebisanyizo ebigenda okumpa essanyu mu mbeera yonna kuba buli muntu alina kyeyetaaga mu bulamu bwe.

Kenzo agamba nti omukyala gwe yetaaga mu bulamu bwe, alina okuba nga bafanaganya ebintu bingi, balina ebirubirirwa bye bimu, omuntu omulungi kyokka tafa ku ggwanga, “Alot in Common, same Goals, all tribes, someone Good”.

Wabula wadde Kenzo awadde ebisanyizo bye, bangi ku bawagizi be bagamba nti omuyimbi Lydia Jazmine y’omu ku bakyala mu Uganda abalina ebisanyizo okudda mu bigere bya Rema kuba naye mukyala alabika bulungi nnyo, bonna bayimbi ate bonna balina abawagizi.

The post Kyaddaki Kenzo azzeemu okulangirira ebisanyizo by’omukyala anadda mu bigere bya Rema, Jazmine alinako 3 appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Kyaddaki Kenzo azzeemu okulangirira ebisanyizo by’omukyala anadda mu bigere bya Rema, Jazmine alinako 3"

Post a Comment