Gashumba ataddewo obukwakulizo obukambwe ku God’s Plan bw’aba ayagala okuwasa Sheilah mu butongole, atabukidde bannayuganda

Gashumba ataddewo obukwakulizo obukambwe ku God’s Plan bw’aba ayagala okuwasa Sheilah mu butongole, atabukidde bannayuganda

Frank M. Gashumba taata w’omuwala Sheilah Gashumba ataddewo obukwakulizo ku musajja yenna eyegwanyiza okutwala muwala we mu bufumbo obutukufu.

Mu kiseera kino Sheilah ali mu laavu ne Marcus Ali amanyikiddwa nga God’s Plan mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa.

Wabula Gashumba agamba nti omusajja yenna okutwala muwala we, aba famire balina okumwekeneenya omwaka mulamba okuzuula byonna ebimukwatako.

Gashumba agamba nti, “waliwo obusajja obumeketa amannyo ate nga balina empisa embi, kale famire yaffe erina okumwekeneenya omusajja omwaka mulamba, okuzuula bamuzaala wa, ani amuzaala, ava mu famire ki, eneyisa ye ssaako n’ebintu ebirala, kale ebintu bya famire nze ne Sheilah tetulina kubyogererako mu mawulire“.

Ebigambo bya Gashumba, kabonero akalaga nti God’s Plan balina  okumwekeneenya omwaka mulamba okusobola okuwasa Sheilah.

The post Gashumba ataddewo obukwakulizo obukambwe ku God’s Plan bw’aba ayagala okuwasa Sheilah mu butongole, atabukidde bannayuganda appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Gashumba ataddewo obukwakulizo obukambwe ku God’s Plan bw’aba ayagala okuwasa Sheilah mu butongole, atabukidde bannayuganda"

Post a Comment