Bannayuganda 2 bakwattiddwa mu Kenya n’ebicupuli bya ddoola za America

Bannayuganda 2 bakwattiddwa mu Kenya n’ebicupuli bya ddoola za America

Poliisi mu ggwanga erya Kenya ekutte bannayuganda babiri (2) ku by’okusangibwa n’ebicupuli bya ddoola za America emitwalo 94,100 eza Uganda obukadde 347.

Abakwate kuliko Godfrey Tindyebwa ne Evans Tayebwa era baakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu kibuga Mombasa mu mmotooka ekika kya Mercedes Benz.

Okusinzira ku bakulu mu kitongole ekya Poliisi mu ggwanga erya Kenya, Tindyebwa ne Tayebwa okuyingira eggwanga erya Kenya, baayita ku luguudo, akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande.

Ensonga lwaki baayingidde mu ggwanga erya Kenya okutambuza ebicupuli temanyiddwa kyokka Poliisi egamba nti atandiise okunoonyereza.

Abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Mombasa ku misango gy’okutambuza ebicupuli.

The post Bannayuganda 2 bakwattiddwa mu Kenya n’ebicupuli bya ddoola za America appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Bannayuganda 2 bakwattiddwa mu Kenya n’ebicupuli bya ddoola za America"

Post a Comment