BAMBI! Nnalulungi akwattiddwa ku misango emikamwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera

BAMBI! Nnalulungi akwattiddwa ku misango emikamwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera

Gavumenti mu ggwanga erya Rwanda eguddewo emisango gy’okulya mu nsi olukwe n’okubega eggwanga ku Jackie Umuhoza.

Umuhoza muwala wa Pasita Deo Nyirigira awangalira mu Uganda ate nga mulwanirizi wa ddembe ly’obuntu mu ggwanga erya Rwanda.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu ggwanga erya Rwanda ekya Rwanda Bureau of Investigations (RIB) kyalangiridde emisango egivunaanibwa Umuhoza.

Okusinzira ku Poliisi, Umuhoza yakwatibwa ku Lwokusatu nga 27, November, 2019 era mu kiseera kino ali ku Poliisi y’e Remera.

Alipoota ziraga nti muganda wa Umuhoza, Axelle Umutesi myaka 30 ne Lillian Umutoni myaka 32 baakwattiddwa.

Nyirigira 67 mutuuze we Kakyeka mu Monisipaali y’e Mbarara amanyikiddwa nnyo okuvumirira ebigenda mu maaso mu ggwanga erya Rwanda.

The post BAMBI! Nnalulungi akwattiddwa ku misango emikamwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BAMBI! Nnalulungi akwattiddwa ku misango emikamwe, ayolekedde okuvundira mu kkomera"

Post a Comment