Abadde atigomya abantu b’e Mayuga akwattiddwa, asangiddwa n’emmundu enjigirire

Abadde atigomya abantu b’e Mayuga akwattiddwa, asangiddwa n’emmundu enjigirire

Poliisi y’e Mayuga ekutte omusajja abadde atigomya abatuuze nga yenyigira mu kubba.

Rogers Magoola 26, ali mu kaddukulu ka poliisi ku kitebe kya Poliisi e Mayuge ku misango gy’okwefuula kyatali ssaako n’okubisa eryanyi.

Magoola yasangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli yunifoomu z’amaggye bbiri (2), emmundu enjigirire, ekyambalo kya Poliisi, enkofiira z’amaggye bbiri (2), ttooci 3 n’emiguwa 3.

Poliisi egamba nti Magoola abadde anoonyezebwa ku by’okubba abatuuze mu bitundu bye Kityerera, Malongo, Bugadde ne kuluguudo lwe Musita – Namayingo- Busia.

The post Abadde atigomya abantu b’e Mayuga akwattiddwa, asangiddwa n’emmundu enjigirire appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "Abadde atigomya abantu b’e Mayuga akwattiddwa, asangiddwa n’emmundu enjigirire"

Post a Comment