Sheikh Muzaata akambuwadde lwa bigambo bwa Minisita Lokodo, alangiridde ekiddako, alaze lwaki amwesunga
Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddemu omwasi ku nsonga za Minisita avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo okumuyita ku nsonga z’okuwebuula omuyimba Eddy Kenzo.
Minisita Lokodo ayagala Sheikh Muzaata yeetonde kubanga yasiiwuuse empisa n’ayogera ebigambo ebitagya mu kitiibwa kye nga munnaddiini.
Lokodo yategeezezza bannamawulire nti ennaku zino abadde akubira Muzaata essimu nga takwata kati ekiddako agenda kufulumya ekiragiro ekimuyita ng’akozesa offiisi ya Supreme Mufti atwala Kibuli mu ofiisi ye.
Mungeri y’emu yagambye nti, “nga minisita akwasisa empisa, siyinza kusigala nga ntudde nga munnaddiini nga Muzaata asiiwuuka empisa”.
Wabula Muzaata agamba nti kyewunyisa Minisita Lukodo okumuyita ku nsonga za Kenzo kyokka ng’alemeddwa okulwanyisa obuseegu mu ggwanga.
Agamba nti tanafuna kiwandiiko kimuyita kyokka amwetegekedde kuba ye nga Minisita alemeddwa okulwanyisa obuseegu kyokka yeyingiza mu nsonga ze ne Kenzo.
0 Response to "Sheikh Muzaata akambuwadde lwa bigambo bwa Minisita Lokodo, alangiridde ekiddako, alaze lwaki amwesunga"
Post a Comment