Poliisi ekutte omugagga ku by’okubba amassimu agasukka mu 160, bamukutte atwala kutunda

Poliisi ekutte omugagga ku by’okubba amassimu agasukka mu 160, bamukutte atwala kutunda

Poliisi y’e Bujjuko ekutte omusajja Allan Ggayi agambibwa okwenyigira mu kubba n’okumenya edduuka eritunda amassimu e Kawempe ne batwala amassimu ag’enjawulo.

Ggayi nga mutuuze we Kyanja, Poliisi emukwatidde Bujuuko ku luguudo lwe Kampala – Mityana.

Poliisi esudde emisanvu mu luguudo okwekebejja buli mmotoka oluvanyuma lw’okufuna essimu okuva ku Poliisi y’e Kawempe ku bunyazi bwa Ggayi obw’okumenya edduka ly’amassimu e Kawempe.

Ggayi bamukwatidde mu mmotoka ekika kya Toyota Allex namba UBE 641A ng’ali ne mukwano gwe Tonny Sozzi kyokka ye, yasobodde okudduka.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Ggayi atwaliddwa ku Poliisi y’e Kawempe ku misango ku gy’obubbi era okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.

Onyango akawodde abantu bonna abalina okujjulizi, okubutwala ku Poliisi y’e Kawempe oba Bujjuko, kibayambeko mu kutwala Ggayi mu kkooti.



0 Response to "Poliisi ekutte omugagga ku by’okubba amassimu agasukka mu 160, bamukutte atwala kutunda"

Post a Comment