LABA SSENTE! Bibino ebirabo ebyatwaliddwa mu kukyala kwa Rema bya bukadde, Dr. Sebunya alaze Ssenga nti asinga Kenzo mu byonna

LABA SSENTE! Bibino ebirabo ebyatwaliddwa mu kukyala kwa Rema bya bukadde, Dr. Sebunya alaze Ssenga nti asinga Kenzo mu byonna

Dr. Hamza Ssebunya alaze nti naye musajja alina ssente bw’atwalidde ssenga ebirabo bya bukadde bwa ssente mu kukyala kwe.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Dr. Hamza yakyadde ewa Ssenga wa Rema Namakula e Naggulu mu Kampala era yawerekeddwako abantu bangi ddala ate nga bonna ssente zibayitaba nga bakulembeddwamu ssentebe w’abagagga b’omu Kampala, Godfrey Kirumira.

Dr. Ssebunya yatwalidde Ssenga wa Rema ebintu eby’enjawulo omuli ensawo za sukkali, omuceere, enkota z’amatooke, ekisambi ky’ente, ebokisi z’amazzi, engoye n’ebintu ebirala.
Kigambibwa ebintu ebyatwaliddwa bya bukadde bwa ssente era mu kiseera kino Ssenga wa Rema ali mu ssanyu.

 

The post LABA SSENTE! Bibino ebirabo ebyatwaliddwa mu kukyala kwa Rema bya bukadde, Dr. Sebunya alaze Ssenga nti asinga Kenzo mu byonna appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "LABA SSENTE! Bibino ebirabo ebyatwaliddwa mu kukyala kwa Rema bya bukadde, Dr. Sebunya alaze Ssenga nti asinga Kenzo mu byonna"

Post a Comment