LABA ESSANYU! Eddy Kenzo amenye likodi mu Africa, ye muyimbi asoose okukikola mu byafaayo, abazungu basigadde banyenya mitwe
Omuyimbi Edrisah Musuuza amanyikiddwa Eddy Kenzo okuva mu Big Talent Entertainment amenye likodi mu Africa era agamba nti ye muyimbi asoose okukikola.
Kenzo agamba nti mu Africa yonna, tewali muyimbi yenna yali ayimbiddeko mu ggwanga erya Colombia era ye muyimbi okuva mu Africa asoose okuyimbirako mu ggwanga eryo.
Kenzo yabadde mu bitundu bye Medellin era yakubye ennyimba ez’enjawulo kyokka oluyimba ‘Sitya Loss’ lwawadde abazungu essanyu.
Olunnaku olw’eggulo, Kenzo bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu bitundu bye Makindye, yagambye nti asobodde okweyambisa talenti ye okutunda Uganda n’oluganda kuba asobodde okuyimbisa abazungu Oluganda mu nnyimba ze n’okuwanika bendera y’eggwanga.
0 Response to "LABA ESSANYU! Eddy Kenzo amenye likodi mu Africa, ye muyimbi asoose okukikola mu byafaayo, abazungu basigadde banyenya mitwe"
Post a Comment