BIZUUSE! Wuuno nannyini nnyumba Rema mwe yakyaliza Dr. Hamza Ssebunya, laba okuswala, Kenzo ali mu nseko

BIZUUSE! Wuuno nannyini nnyumba Rema mwe yakyaliza Dr. Hamza Ssebunya, laba okuswala, Kenzo ali mu nseko

Oluvanyuma lwa Rema Namakula okukyaza Dr. Hamza Sebunya ewa Ssenga olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, bangi ku bannansi basigadde bebuuza ebibuuzo bingo nnyo.
Bagamba nti kimanyiddwa nti Rema azaalibwa Masaka era gye yabadde alina okutwala okusajja.
Abamu bagamba nti Rema yakoze nsobi okupangisa enju e Naggulu okuwudiisa abantu nti Ssenga we ali mu mbeera nungi nnyo.


Rema okutwala omusajja e Naguru mu nju empangise yakoze nsobi kuba yandibadde amutwala e Masaka ku kyalo gye bamuzaala, okwagala okulaga ensi nti ssenga we alina mu mbeera nungi kikyamu nnyo era abantu nga Rema olaba apangisa enju, asobola bulungi nnyo okupangisa ssenga okuva ebbali. Enju yamuweseza ekitiibwa okuva mu bantu ab’enjawulo kuba bannamawulire bagikubye ebifaananyi naye alina okukiriza nti yapangisiza mpangise“, abamu ku bantu aboogeddeko naffe.

Wabula okunoonyereza kwaffe kulaga nti enju ya mugenzi Godfrey Mabiriizi owa Mabiriizi Complex.

The post BIZUUSE! Wuuno nannyini nnyumba Rema mwe yakyaliza Dr. Hamza Ssebunya, laba okuswala, Kenzo ali mu nseko appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "BIZUUSE! Wuuno nannyini nnyumba Rema mwe yakyaliza Dr. Hamza Ssebunya, laba okuswala, Kenzo ali mu nseko"

Post a Comment