AUDIO! Kenzo akolimidde Sheikh Muzaata olw’okumulagira okuwasa nnyina eyafa edda n’okulumya omwana we, amusindikidde dduuwa enkambwe emukutule ebitundu by’ekyama
Kyaddaki Edrisah Musuuza amanyikiddwa ng’omuyimbi Eddy Kenzo ayanukudde ebigambo bya Sheikh Nuhu Muzaata ebyayogeddwa olunnaku olweggulo ku Lwokusatu bwe yabadde awerekeddeko Dr. Hamza Ssebunya okukyala ewa Ssenga wa Rema Namakula e Naggulu.
Muzaata bwe yakutte akazindalo yagambye nti Rema awonye omusajja abadde amuzannyirako kuba Dr. Sebunya si musajja museegu ategeera kye bayita omukwano.
Mungeri y’emu, yagambye nti Rema yawonye ‘bu Love Nigga bu semyekozo’, kuba Dr. Ssebunya amaliridde okumuggyako ennaku yonna.
Ku nsonga eyo, Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okwanukula Sheikh Muzata era agambye nti, “Sheikh Nuhu muzata seebo obubaka mbufunye neyanziza naye ebyembi maama wange yafadda mugenzi like 20 something years back era yensonga lwaki nawe ondabira mukifananyi mwondabira singa abaddewo osanga sandibadde semyekozo nga gwe bwontwara sheik muzata onvumidde mumaso go mwana wange nga akuraba i don’t think that was her good day today and she will never forget about you. I thank you mr muzata Allah ajakutulamula kulunaku luli, inshallah salamaleikm“.
Eddoboozi lya Muzaata
The post AUDIO! Kenzo akolimidde Sheikh Muzaata olw’okumulagira okuwasa nnyina eyafa edda n’okulumya omwana we, amusindikidde dduuwa enkambwe emukutule ebitundu by’ekyama appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AUDIO! Kenzo akolimidde Sheikh Muzaata olw’okumulagira okuwasa nnyina eyafa edda n’okulumya omwana we, amusindikidde dduuwa enkambwe emukutule ebitundu by’ekyama"
Post a Comment