UGANDA ZZAABU! Wuuno omukyala avuddeyo okulemesa Bobi Wine Entebe ya Pulezidenti mu 2021, byonna abyogedde
Wuuno omukyala naye avuddeyo okuvuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.
Nancy Kalembe agamba nti kino kye kiseera abakyala okuvaayo okukwata entebe okulaga nti balina obusoobozi.
Kalembe y’omu ku Bannayuganda abasukka 40 abawandiikidde akakiiko k’ebyokulonda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti.
Agamba nti 2021 ye Pulezidenti wa Uganda addako kuba yazaalibwa nga mukulembeze.
Kalembe okuvaayo okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021, kabonero akalaga nti naye avuddeyo okulemesa omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine entebe.
Bobi Wine agamba nti 2021, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alina okuva mu ntebe nga bayita mu kalulu kyokka ne Kalembe agamba nti ye Pulezidenti alina okuddako nga Museveni avudde mu buyinza.
Kalembe alaze nti amaliridde okutwala obuyinza era agamba nti wadde Uganda eri mu mbeera ya kulwanyisa Covid-19 nga tulina Kafyu, tewali kigenda kumulemesa kuba yetaaga entebe ku lw’obuyinza bwa Katonda.
The post UGANDA ZZAABU! Wuuno omukyala avuddeyo okulemesa Bobi Wine Entebe ya Pulezidenti mu 2021, byonna abyogedde appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "UGANDA ZZAABU! Wuuno omukyala avuddeyo okulemesa Bobi Wine Entebe ya Pulezidenti mu 2021, byonna abyogedde"
Post a Comment