HAHAHAHA! Zari Hassan akubye aba People Power bbomu, alaze ekimufuula omukyala ow’enjawulo mu ggwanga
Omukyala Zari Hassan alaze ekimufuula omukyala ow’enjawulo ku bakyala abalala mu ggwanga.
Okuva ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwomusanvu, 2020, Zari abadde ku mbiranye ne bannakisinde kye People Power olwa Bobi Wine.
Omwaka 2021, Bobi Wine ayagala kwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda era Zari yavaayo okusaba Bobi okulaga ensi oba alina ebisanyizo.
Zari agamba nti nga Munnayuganda omulala yenna, alina okumanya oba Omuntu yenna yeegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga alina ebisanyizo era y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo ku nsonga za Bobi Wine.
Ebigambo bya Zari byatabudde aba People Power nga bagamba nti yalidde ssente okuva mu kibiina kya NRM, abamu nga bagamba nti Malaaya era tagwanidde kwogera ku nsonga za Uganda kuba awangalira mu South Africa.
Wabula Zari alaze ekimufuula omukyala ow’enjawulo mu mbeera zonna. Zari agamba nti okwesembereza n’okuwangala n’abantu abalina ebirowoozo ebirungi n’abali mu mbeera ennungi kimuyambye nnyo,”Surround yourself with positive people who will support you when it rains, not just when it shines“.
Ebigambo bya Zari biraga nti omuntu yenna alina okwekeneenya abantu abamuli ku lusegere ku lw’obulamu obulungi era alaze aba People Power abalowooza nti okwetunda y’ekkubo lyokka ely’okufuna ssente.
The post HAHAHAHA! Zari Hassan akubye aba People Power bbomu, alaze ekimufuula omukyala ow’enjawulo mu ggwanga appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "HAHAHAHA! Zari Hassan akubye aba People Power bbomu, alaze ekimufuula omukyala ow’enjawulo mu ggwanga"
Post a Comment