AUDIO! Omubaka Nantaba akooye okusirikira ebyama, avuddeyo ku by’okutta Kagezi, Kaweesi, Kirumira ne Abiriga

AUDIO! Omubaka Nantaba akooye okusirikira ebyama, avuddeyo ku by’okutta Kagezi, Kaweesi, Kirumira ne Abiriga

Omubaka omukyala owe Kayunga atabukidde ekitongole kya Poliisi era ayongedde okulaga nti bangi ku bannayuganda tebakyesiga.
Nantaba yaliko Minisita we by’ettaka ne w’empuliziganya, kompyuta ne tekinologiya agamba nti Poliisi ya Uganda ejjuddemu kawukuumi.
Bw’abadde ayogera ku nsonga za Poliisi okukwata omuyimbi Gerald Kiwewa ku nsonga z’oluyimba ‘Nantaba’, agambye nti Poliisi ya Uganda erina ebibuuzo bingi era bannayuganda balinze bafune okwanukulwa.

Omubaka Nantaba
Omubaka Nantaba

Omubaka Nantaba agamba nti bannayuganda balinze Poliisi okubategeeza abatemu abatta Ibrahim Abiriga nga 8, June, 2018, Joan Kagezi nga 30, March, 2015, Andrew Felix Kaweesi nga 17, March, 2017 ne Muhammad Kirumira nga 8, September, 2018.

Mungeri y’emu agamba nti mu Poliisi mulimu omuntu eyaddumira okutta Ronald Ssebulime kyokka n’okutuusa kati tamanyikiddwa

Ssebulime yakubwa amasasi omuserikale Cpl. David Ssali mu March w’omwaka oguwedde ogwa 2019 e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono.

Nantaba okutabuka kidiridde Poliisi okumuwayiriza nti yalagidde okukwata Omuyimbi Kiwewa lwa luyimba ‘Nantaba’ mbu yamuvumiddemu.

Eddoboozi lya Nantaba

 

The post AUDIO! Omubaka Nantaba akooye okusirikira ebyama, avuddeyo ku by’okutta Kagezi, Kaweesi, Kirumira ne Abiriga appeared first on Galaxy FM 100.2.



0 Response to "AUDIO! Omubaka Nantaba akooye okusirikira ebyama, avuddeyo ku by’okutta Kagezi, Kaweesi, Kirumira ne Abiriga"

Post a Comment