AKOLE KI! Omuliro gweyongedde mu People Power ku bwa Loodi Meeya, Bobi Wine asobeddwa
Amawulire agava mu kisinde kya People Power, galaga nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine musanyufu nnyo olw’abantu okulaga nti betaaga enkyukakyuka mu ggwanga mu bukulembeze ku mitendera egy’enjawulo.
Omwaka 2021, Bobi Wine ayagala kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga okuvuganya Yoweri Kaguta Museveni ng’asinzira mu kisinde kya People Power.
Wabula okusinzira ku muyambi wa Bobi Wine agaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti mukama we asobeddwa ku kifo ky’obwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda kwa 2021 okubindabinda.
Agamba nti Joseph Mayanja amanyikiddwa Jose Chameleone sabiti ewedde yaddukidde mu People Power okusaba obuwagizi ku ky’okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala kyoka ne ku lunnaku Olwokutaano, eyaliko meeya w’ekibuga Kampala Alhajji Nasser Ntege Ssebagala naye yavuddeyo ng’ayagala bwa Loodi Meeya bwa Kampala nga naye asinzira mu kisinde kya People Power.
Ku nsonga ezo, Omuyambi wa Bobi Wine agamba nti, mukama we akyasobeddwa oluvanyuma lw’abantu 2 okwesowolayo ku bwa Loodi Meeya ate bonna mu kisinde kya People Power.
Mu kiseera kino Bobi Wine ekyebuuza ku bantu ab’enjawulo ku Chameleone ne Ssebagala ani gwe balina okuwagira nga People Power kuba ekifo bakyetaaga.
Wabula Chameleone ne Ssebagala bagenda kuvuganya Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago kuba naye mu 2021 akomawo.
The post AKOLE KI! Omuliro gweyongedde mu People Power ku bwa Loodi Meeya, Bobi Wine asobeddwa appeared first on Galaxy FM 100.2.
0 Response to "AKOLE KI! Omuliro gweyongedde mu People Power ku bwa Loodi Meeya, Bobi Wine asobeddwa"
Post a Comment